Ebyobulamu
Abakyala tebamanyi bikwata ku famile
Ministry y’ebyobulamu egamba nti omuze gw’abakyala okujjamu embuto guvudde ku bantu okutaputa obubi obubaka ku nkola za kizaala ggumba.
Abakyala abatannaba kwetuuka abawerera ddala emitwaalo 30 beebajjamu embuto buli mwaka.
Minister omubeezi akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abakyala bangi tebatamanyi bikwata ku nkola zino nga bazoogerera ebikyaamu ate gyebigweera nga bafunye embuto ezandibadde ziziyizibwa.
Ono asabye abasawo okwongera okusomesa abakyala ku nkola zino okwewala embuto ezitali nesiimire