Ebyobulamu

Abalema bafunye ebyuuma

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Eddwaliro lye Mulago lifunye ebyuuma ebikozesebwa abantu abalina obulemu ku mibiri nga bibalirirwaamu obukadde 26.

Ebyuuma bino biwereddwaayo ekitongole kya rehabilitation worldwide okuva mu Bungereza.

Kino kiddiridde abangereza 13 okujja okulaba nga bayambako abalina obulemu okubanguyiza obulamu.

Muno mulimu amagulu, emikono, eby’ensingo, n’ebirala bingi

Omusawo omukugu ku byamagumba, Denis Nsimenta agambye nti ebikozesebwa bino bya bbeeyi nnyo era bangi tebasobola kubyetuusaako kale nga bino bigenda kuyamba bangi

Yye David Gambo nga yoomu ku baleese ebyuuma bino agamba nti ono yoomu k kawefube w’okuyamba ku bantua bakosebwa ku kirwadde kya poooliyo