Ebyobulamu
Abali embuto mwewale ebisava
Abakyala abalya ennyo ebisava n’ebiwoomerera nga bali embuto bali mu bulabe bw’okuzaala abaana abanywa omwenge n’ebiragalaragala nga bakuze.
Bino bizuuliddwa Dr Nicole Avena aludde ng’akola okunonyereza
Okunonyereza okwavuddemu bino yakukoze ku mmese nnya okumala emyezi 3.
Kyazuuliddwa nti mu bbanga eryo emmese ezaalidde ebisaba n’ebiwoomerera zaazadde obwana obwakuze nebutandikirawo okuwuuta omwenge.
ZZo ezalya ebiwomerera zabadde zayoya n’enjaga.