Ebyobulamu
Abali mu kunywa eddagala lya Mukenenya beyongedde
Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya aka Uganda Aids Commission agamba nti omuwendo gw’abafuna obulwadde bwa mukenenya gukendedde olw’abantu abali ku ddagala okweyongera.
Akulira akakiiko kano, Dr Kiwummulo Apuuli agamba nti omuntu buli lw;abeera ku ddagala emikisa gye egy’okutambuza obulwadde bwa mukenenya gikendeera
Mu myezi 12 egiggya, abantu 240 abapya beebagenda okussibwa ku ddagala ekijja okubasobozesa okuwangaala
Mu kadde kano abantu obukadde bubiri n’ekitundu beebalina obulwadde bwa mukenenya
Apuuli agamba nti amaanyi bagenda kugassa mu masomero okusaawo omujiji gw’abantu abatalina mukenenya