Ebyobulamu

Abalina Hernia balongoseddwa

Ali Mivule

February 9th, 2015

No comments

kibuli camp.jpg2

Abalwadde abalina ekirwadde kya Ania abasoba mu 120 beebalongooseddwa mu nkambi etegekeddwa ab’eddwaliro lye Kibuli okumala ssabbiiti namba

Ekigendererwa mu nkambi eno kyali kyakulongoosa abalwadde 100 kyokka nga basusseemu.

Abantu bano balongoseddwa abakugu okuva mu Turkey nga bayambibwaako aba wano

Atwala eby’eddagala ow’eddwaliro lye Kibuli Dr. Muhamood Elgazar agambye nti abantu abasinga bebakozeeko, ania waabwe abadde akuze nga yetaaga kulongosezaawo

Dr.Abudulatif Magala asabye abantu bulijjo okugenda okwekebeza okulaba nti bayambibwa nga bukyaali