Ebyobulamu
Abalina Kkolera beeyongedde
Nga 2 bebakafa, omuwendo gwabantu abakakwatibwa ekirwadde kya Kkolera mu district ye Namayayingo gweyongedde okulinya okutuuka ku bantu 54, yadde nga ministry y’ebyobulamu n’abakulira ebyobulamu ku district bakola ekisoboka okutakiriza embeera.
Omubaka wa pulezidenti mu district eno Mpimbaza Ashaka ategezezza nga kati abamu ku balina kkolera ono bwebeyongeddeyo munda mu ggwanga lya Kenya ekyongera okweralikiriza.
Agamba ekisinga okukwaasa ennaku kwekuba nti abatuuze tebajumbidde magezi g’abasawo okwewala obukyafu yadde nga babasomesezza ekimala.