Ebyobulamu
Abalina kkolera kati basoba mu 80.
Omuwendo gw’abantu abafunye obulwadde bwa Cholera mu disitulikiti ye Moyo gulinnye
Abantu abalina obulwadde buno baweredde ddala 81 okuva ku 64 ababadde mu malwaliro olunaku lwajjo.
Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza palamenti olw’eggulo lwaleero nti bakyagenda mu maaso n’okukebera abantu abalala okukakasa oba balina obulwadd buno okusobola okufuna obujjanjabi
Rugunda kyokka awakanyizza ebigambibwa ababaka okuva mu bitundu ebikoseddwa nti tewali bikozesebwa bimala ng’agamba nti kyonna ekisoboka kikolebwa okuddukirira embeera.