Ebyobulamu
Abalina omusaayi gwa AB beerabira nnyo
Abantu abalina omusaayi gw’ekika kya AB bali mu bulabe bw’okwerabirarabira
Ekika ky’omusaayi guno nno tekitera kulaba era nga kigambibwa nti ku buli bantu 100 abakirina baba nga bana
Ebizuuliddwa byegasse ku byasooka nga biraga nti ekika ky’omusaayi gw’omuntu kimussa mu bulabe bw’okufuna obulwadde bw’omutima era ng’ekika ekyatunuulirwa kyekya AB
Abakugu bagamba nti engeri y’okukuumamu obwongo nga tebwerabira mwemuli okulya obulungi , okukola dduyiro n’obufuweeta sigala