Ebyobulamu
abalina siriimu baboolebwa
Gavumenti esabiddwa okwongera okubangula abantu ku ngeri y’okukwatamu abantu abalina obulwadde bwa mukenenya.
Akulira ekibiina ekigatta abalina mukenenya Dora Kikyonkyo agambye nti abantu bangi abalina mukenenya naddala abakyala bakyaboolebwa nga bangi babalaba ng’abenzi.
Agambye nti bangi tebafiibwaako, tebafuna bujjanjabi ate nga tebafuna na bubaka bwetaagisa
Prof Ben Twinomugisha omusomesa e Makerere agamba nti bannayuganda tebategeera ddembe lyaabwe kati ate nga bwegutuuka ku balina siriimu gujabagira.