Ebyobulamu
Abalwadde ba Kolera badduse mu ddwaliro
Bya Shamim Ntaeebwa ne Juliet Nalwoga
Abatuuze be Kabowa bali mu kutya, ngemitima gibewanise oluvanyuma lwabalwadde ba chjolera 2 okudduka mu ddwaliro lye Naguru gyebabadde baawuliddwa.
Ababiri bano baterekeseeko lya Nalongo ne Peter nga baddus mu ddwaliro nga balumiriza nti teri ddagala.
Olunaku Olweggulo ministry yebyobulamu yakakasiza nti waliwo abantu 8 abawuddwa, nga bateberezebwa okubeera nekirwadde kino, kyokanga 2 okunonyereza okusooka kwakakasizza nti balwadde.
Kati omusasi waffe bwatuseeko mu kitundu kino, abatuuze bamubuliidde nti nabo batidde ate bano bandibasiiga ekirwadde.
Wabula omowgezi wa ministry yebyobulamu Emmanuel Ainebyonna, akaksizza nti eddagala gyeriri, era nalabula ku kikolwa kyabalwadde ate okudduka mu malwaliro.
Ate abakulembeze mu Nakayiza Zone, Ssembule zone nawalala e Kaboowa mu division ye Rubaga bayisizza amateeka amakakali kungeri yokukumamu obuyonjo.
Abakulembeze balagidde amaka gonna agatalina zzi kabuyonjo okuzisima mu nnaku 4 zokka, abatuuze bakomye okusula ne kasasiro, era buli omu okusasula 3000 ezokumuyoola okuva mu maka gaabwe.
Kansala wa KCCA Juma Kabotongo era asabye nekitongole kya KCCA okujja mu bwangu okugogola omwala gwa Nalukolongo okutambuza amazzi.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde Cjolera yalumba district okuli Kween, Kampala, Bulambuli, Mbale ne Hoima natta abantu, ekyawaliriza ne gavumenti okugema abantu mu bitundu ebyo.
Mu nsonga zezimu ezebyobulamu lord mayor wa Kampala Erias Lukwago ayambalidde ministryyebyobulamu gyagamba nti erina akasoobo, mu kudukirira abalwadde abali mu bwetaavu.
Bwabadde ayogera ne banamwulire Lukwago ayogedde ku kirwadde kya Cholera, nagamba nti guno ssi gwemulundi ogusoose okulumbibwa ekirwadde kino.
Agambye nti Cholera yatandika mu biseera bya ssekukulu nga waliwo nabalwadde abafa naye ministry ebadde yakavaayo kati.