Ebyobulamu
Abalwadde ba Nalubiri bagala obujanjabi bubasemberere
Bya Ivan Ssenabulya
Abazadde babaana abalina obulwadde bwa Sickle cell mu bitundu ebyesudde Kampala bawanjagidde gavumenti ebasembereze obujanjabi.
Bino bibadde mu musomo gwa’bazadde abalina abaana abalwadde ogubadde ku ddwaliro lya Mukono
Health Center IV.
Abazadde bagamba basanga akaseera akazibu okubezaawo abaana kubanga obujanjabi buli Wala Mulago ne Kiruddu.
Akwasagannya ensonga zokubudabuda abazadde abalina abaana abalina obulwadde bwa Sickle cells, Evelyn Mwesigwa agambye nti gavumenti yatandise ku ntekateeka eyokusasaanya obujanjabi bweyaguddewo Clinic ya sickle cell e Mukono.