Ebyobulamu

Abalwadde bakozesa bubi ebitanda

Ali Mivule

July 18th, 2015

No comments

Obutamanya nkozesa yabyuma ku ddwaliro e Mulago kikosezza nyo abaliddukanya.

Ayogerera eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba ebintu omuli ebitanda ,Taapu z’amazzi,obugaali bw’abalwadde n’ebirala byonooneddwa abalwadde abatamanyi kubikozesa nga kati eddwaliro lyetaaga buwumbi okubirongoosa.

Bw’abadde akuliddemu omulimu gw’okusomesa abasawo engeri gyebayinza okuyambako abalwadde okwatamu ebintu by’eddwaliro, Kusaasira ategezezza ng’ekitundu kimu bwekimalawo akakadde kamu n’ekitundu nga mu kiseera kino ebitanda ebisoba mu 100 tebikyakola oluvanyuma lw’okwonoonebwa.