Ebyobulamu
Abalwadde bakulya nga balimi
Abalwadde mu ddwaliro ekkulu e Mulago bakulya nga balimi ku ssekkukkulu.
Bano bagenda kulya mmere ya njawulo ku lunaku luno okwawukanako n’ebinjanjaalo n’akawunga byebalya bulijjo
Kusaasira agamba nti bagenda kusala ente n’okufuna emmere ey’enjawulo okuliisa abalwadde baabwe
Kusasira agamba nti tebagaala antu baabwe kujula babeere n’ebyokulya ebirungi yadde tebabeere mu maka gaabwe