Ebyobulamu
Abamu badda engulu nga balongoosebwa
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abantu abamu badda engeri nga bagenda mu maaso n’okubalongoosa yadde baba basirisiddwa
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu ababadde balongoosebwa 300 .
Ku buli bantu emitwaalo 19 abalongoosebwa, omu adda engulu nga bakyamukolako
Kino kibaawo ku naddala ku bakyala abaali balongoseddwaako nga bazaala oba abo abamira amadagala g’amaanyi
Abakugu bagamba nti yadde tekitera kubaawo, abasawo basaanye okuzuula amangu engeri y’okukyewalamu kubanga kya bulabe nnyo