Ebyobulamu
Abanene beeyongedde mu nsi
Omuwendo gw’abantu abasukkiridde obunene gwongedde okulinnya okutuuka ku bantu obuwumbi 2
Omuwendo guno kumpi gwekubisizzaamu ng’abantu abaali abanene mu mwaka gwa 1980 baali obukadde 875
Okunonyereza okukoleddwa era kulaga nti tewabaddewo ggwanga lutuukirizza lutalo ku bunene
Agamu ku mawanga agasingamu abantu abanene kuliko America, China, ne Russia ne Bungereza
Abakugu mu nsonga z’ebyobulamu bagamba nti ensi ekyuuse ng’abantu buli kimu balya kikolerere y’ereese obuzibu.