Ebyobulamu

Abantu abasoba mu 700 bajanjabiddwa.

Ivan Ssenabulya

May 1st, 2018

No comments

Bya Getrude Mutyaba.

Abantu abasooba mu 700 baweereddwa obujanjabi obw’obwereere okuva mu bitongole eby’enjawulo mu lusiisira lw’ebyobulamu olubadde mu kibuga kye Lukaya ku ddwaliro lya Matovu Medical Centre.

Mu ntekateeka eno endwadde ezijanjabiddwa kubadeko kookolo,mukenenya, omusujja, akafuba, lubyamira n’endala.

Omusawo omukugu mu kujanjaba endwadde z’abaana Dr Margaret Ntambaazi nga yoomu kubawadde obujanjabi akubirizza abantu okutwala obulamu bwabwe ng’ekikulu era naasaba abazadde okugemesa abaana abato okwewala okufuna endwadde  enkambwe.