Ebyobulamu

Abantu basusse okwagala akaboozi- Lokodo

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

Lokodo

Minisita w’empisa n’obuntu bulamu Fr Simon Lukodo agamba nti obulwadde bwa siriimu okwongera okubuna kivudde ku bantu okwagala nnyo okwegadanga nga wakiri obalesa emmere.

Bweyabadde ku mikolo gy’okujjukira abazze bafa obulwadde buno mu kibuga e Gulu, minisita Lukodo yagambye nti ennaku zino ensonga za kaboozi tezikyali zankukutu ng’abantu obasanga emisana ttuku nga bali mu kwegadanga

Asabye n’akakiiko akalwanyisa mukenenya okusengejja obubaka bwebasindika mu bantu kubanga obusinga ate butumbula bwenzi.

Ono era alumbye abalenga akaboozi olw’okubunya ennyo mukenenya n’ategeeza nga bw’ajja okubayigga okutuuka ng’abamazeewo.

Yye ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga za mukenenya Roland Kaginda Mugume asabye bannayuganda ,okumanya nti mukenenya gyali nga bakyusa ne kuneeyisa yaabwe