Ebyobulamu

Abasajja abakuliridde tebagaala kukomolwa- alipoota

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Male circumcision 2

Abasajja bangi abali waggulu w’emyaka 35 tebajjumbira okukomolwa nga bweguli ku bavubuka abali wakati w’emyaka 10 ne 19.

Minisitule y’ebyobulamu egamba nti bakizudde nti abasajja bano kubanga babeera bafumbo bakyala baabwe babagaana okukomolwa nga batya nti bajja kwenda ssinga bakomolwa

Atwala enteeka teeka y’okukomola abasajja mu minisitule y’ebyobulamu Dr Barbara Nanteza agamba nti abakyala bano bagamba nti abasajja bangi balowooza bwebakomolwa tebafuna mangu siriimu era gyebigweera nga batandise okwenda

Dr. Nanteza era agamba nti n’abasajja abakulu batya nnyo okukomolwa ate ogutali ku bavubuka abalina abawala abato ababawa amaanyi okukomolebwa

Dr. Nanteza agamba nti abasajja abasoba mu bukadde bubiri beebakakomolwa mu bbanga lya myaka etaano gyebamaze nga bakunga abasajja okwekomoza