Ebyobulamu

Abasawo abakyala abagaana banaabwe abasajja batuntuzibwa

Ali Mivule

March 13th, 2014

No comments

PS Health Lukwago 1

Minisitule ekola ku byobulamu ekkiriza nti abasawo abakyala bangi batuntunzibwa abasajja lwakugaana kubaganza.

Abakyala bano batuuka n’okubajja ku nkalala z’abalina okusasulwa.

Ku ntandika ya ssabbiiti eno, minista omubeezi akola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti Ssezi Mbaguta yakkiriza nti waliwo abakyala abajjibwa ku nkalala lwakugaana bakama baabwe.

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti wabula ssi buli mukazi atali ku lukalala nti aliko gweyagaana.

Dr Lukwago asabye abasawo abatuntuzibwa okuwaaba basobole okuyambibwa.