Ebyobulamu
Abasawo abanafu bakugobwa
Abasawo abanafu tebajja kuba na bifo Mulago ng’eddwaliro lino limaze okulongoosebwa
Bino byogeddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago
Dr Lukwago agambye nti eddwaliro lino bagaala kuliteeka ku mutindo gw’ensi yonna kyokka nga kino kijja kutuukikako ng’abasawo tebasooba.
Bino yabyogedde aggalawo omusomo gw’emyezi omukaaga eri abasawo n’abaddukanya eddwaliro lino erye Mulago n’amalwaliro ga gavumenti mu kampala.
Kyokka era Lukwago agambye nti okussa eddwaliro lino ku mutindo gw’ensi yonna kyetaaga ssente ng’abalwadde balina okweteekateeka okuwa ku nsimbi ezisingako zebabadde bawa
Yye amyuka akulira eddwaliro lye Mulag Dr .Doreen Birabwa Male agambye nti nga bamalirizza okulongoosa eddwaliro n’okussaamu ebyuuma by’omulembe, omujjuzzo mu ddwaliro bagusuubira okukendeera
Okuddabiriza Mulago gwatandika mu November w’omwaka oguwedde.