Ebyobulamu
Abasawo abanajjamu embuto babaano
Minisitule ekola ku by’obulamu etendese abasawo abasoba mu 7000 , nga bano bagenda kujanjaba bakyala abagyamu embuto nezibeefulira.
Tutegeezeddwa nti bano okutendekebwa kiddiridde naddala abawala okukulamu embuto nebamala nebeekekwa era bangi mu kino nebafa
Kamisona akola ku by’okuzaala mu ministule eno Dr.Collins Tumwesigwire atugambye nti newankubade mu mateeka ga Uganda okujjamu embuto kimenya mateeka, bbo nga abasawo tebayinza kuleka bantu kufa
Bbo abasajja basabiddwa okuyamba ku bakyala baabwe okukozesa enkola za kizaala ggumba okwewala embuto ezitewalika.
Atwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo Dr. Ronald Kaye agambye nti abakyala bangi balemesebwa ba bbaabwe okukozesa enkola zino ekirese abakyala bangi nga bazesambye.