Ebyobulamu
Abasawo baakwediima olwa 15000/- ez’ekyemisana
Bya Ndaye Moses
Abasawo wansi w’ekibiina ekya Uganda Nurses and Midwives Union, kirangiridde ak’ediimo kebatuumye Slow-down strike mu lunyanyimbe, nga bagala gavumenti esooke ebawe ensako yaabwe eya 15, 000/- ezeky’emisana.
Mu kdiimo kano bagambye nti essaawa bwezintukanga ezekyemisana, nga bava mu malwaliro omulundi gumu.
Pulezidenti wekibiina kino Justus Cherop Kiplangat, agambye nti omukulembeze w egwanga Yoweri K. Museveni mu mwaka gwa 2017, yabasubiza okubawa ssente zino, nentekateeka okujitwala mu lukiiko lwabaminista wabulanga, okutuusa olwaleero tewali kyabaali bazeemu okubanyegako.
Akediimo kano kagenda kutandika omwezi ogujja, nga mu budde obwo bagemba bakwenonyeza ekyemisana engeri gavumenti gyeremereddwa.
Kati omuwandiisi w’ekibiina kyabasawo kino, Tayebwa Johnson yaliko by’atunyonyodde.