Ebyobulamu
Abasawo bagaala kwongezebwa musaala
Abasawo mu ggwanga bagaala kwongezebwa musaala wakiri asookerwaako abe ng’afuna akakadde kamu n’ekitundu
Nga bayita mu kibiina kyaabwe kyaabwe ekya Uganda medical workers union,abasawo bagamba nti omusaala gwebafuna mutono nnyo era emirundi egisinga gubalamu amaanyi nebatafa ku balwadde.
Mu kadde kano omusawo asinga afuna emitwalo 60 ate asembayo afuna emitwalo 25
SSabawandiisi w’omukago gw’abasawo bano Aggrey Sanya agamba nti gavumenti bagiwadde ennaku 90 okulowooza ku kusaba kwaabwe nga ssinga teri kavaayo, bakuyiiya ekiddako.
Ng’ayogerera ku lukungaana lwelumu, omubaka w’abasawo mu palamenti Sam Lyomoki agambye nti abakyala abaweza ebitundu 45 ku kikumi bazaala tebaliiko basawo babafaako olw’engeri abasawo gyebakwatibwaamu.
Asabye gavumenti okulowooza ku ky’okulongoosa embeera y’abasawo bw’eba eyagala empeereeza mu malwaliro gaayo etereere.