Ebyobulamu

Abasawo bakaaba

Ali Mivule

January 20th, 2014

No comments

Doctors

Abakulembee mu disitulikiti  ye Wakiso balajanidde gavumenti eveeyo ebanyonyole lwaki omusaala gw’abasawo ogw’emyezi egyasembayo mu mwaka oguwedde bagitema .

Bino bibadde  mu alipoota efulumiziddwa akulira eby’obulamu mu disitulikiti  eno, Dr Emmanuel Mukisa, bw’abadde ayanjulira abakulembeze, abakozi awamu n’abakulira abasawo mu lukungaana lw’ebyobulamu.

Mukisa agamba nti disitulikiti  eri mu kutya olw’abasawo abatandise edda okutiisatiisa okwekalakaasa ekyolese okukosa abakozi.

Wabula aba minisitule ekola ku nsonga z’abakozi bagamba nti kino kyavudde ku nteekateeka yaabwe ey’okutereeza olukalala lw’abasawo okudda mu nkola ey’omulembeze etambulira ku byuuma bikali magezi.