Ebyobulamu
Abasawo bakwatiddwa e Sembabule
Abasawo 12 beebakwatiddwa lwa kwepena mirimu
Kino kisanyalazza emirimu ku ddwaliro lye sembabule nga tewaliiwo basawo
Akuliddemu ekikwekweto, Swaibu Bagendana agamba nti bafunye okwemulugunya okutali kumu okuva eri abakozi olw’okugendanga mu malwaliro nga teri basawo
Ono agamba nti abasing okukosebwa beebakyaala b’embuto n’abalina obulwadde bwa mukenenya abetaaga okulabirirwa n’okuweebwa eddagala naye nga tewali babakolako .
Wabula ate wabaddewo katemba, abalwadde bwebalumbye poliisi nga bagaala abasawo bano bayimbulwe kubanga beebabadde babonaboona
Omu ku balwadde abadde akimye eddagala eriweweza ku bulwadde bwa mukenenya agamba nti ekisaliddwaawo okukwata abasawo kigenda kusajjula mbeera
Poliisi gyebigweredde ng’ewaliiziddwa okuyimbula abasawo bano