Ebyobulamu

Abasawo bakyadduka ensasula embi.

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Doctors

Omuwendo gw’abasawo abadduka mu ggwanga buli lukya gwandikosa ebyobulamu mu ggwanga

Abasawo abali mu 2000 beebagambibwa okuba nga bakadduka mu ggwnaga mu myaka 10 emabega ng’abasinga nsasula n’embeera mwebakolera y’ebatawanya.

Minister akola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda akkirizza nti ddala bakyalina obuzibu mu kusasula abasawo ekikosezza empeereza y’emilimu.

Dr Rugunda abadde ayogerera mu Lukiiko olugendereddwaamu okusala aamagezi okunogera eddagala eky’abasawo abadduka mu ggwanga

Bino byonna bikolebwa okumalawo ebbula ly’abasawo nga mu mawanga agali wansi w’eddungu sahara okuli ne Uganda, abalwadde 1000 balabirirwa abasawo 2.