Ebyobulamu
Abasawo baleseewo emirimu
Emirimu gisanyaladde ku ddwaliro ekkulu erye Pallisa, abasawo bwebasuddewo emirimu okumala essaawa mukaaga okulaga obuwagizi munaabwe gwebaggulako emisango gy’okuvaako okufa kw’omukyala w’olubuto
Bosco Obete nga y’akulira eddwaliro ategeezezza bannamawulire nti abakozi baggwaamu amanyi okuva munaabwe lweyaggulwaako emisango egy’okutta omukyala Jessica Alupo eyafa oluvanyuma lw’okuvaamu omusaayi omungi.
Abasawo bano begasse nebatambula okutuuka ku kkooti okuwulira omusango oguvunaanibwa munaabwe Dr John Angiro ne munne Anna Akurut abaakola ku mukyala ono.
Omu ku baswo atutegeezezza nti kino bagenda kukikola buli musango lwegunawulirwa okulaga obumu.
Abakyala okuvaamu omusaayi oguyitiridde kyekimu ku bisinga okutta abali mu sanya