Ebyobulamu

Abasawo b’amagumba tewali

Ali Mivule

October 25th, 2013

No comments

Orthopedics

Uganda erina abasawo 26 bokka  abayunga ga bano beebakola ku bukadde bw’abantu 33.

Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti  kino kirese abantu abawera abamenyese nga tebaliiko ayamba era gyebigweera nga bagenze ku basawo b’ekinnansi

Rugunda agamba nti mu malwaliro agamu okwetoloola eggwanga teriiyo musawo yadde n’omu kyokka nga abamenya beebangi

Ono agamba nti mu kadde kano okuweweraako, eggwanga lyeetaga abasawo abayunzi 100.

Mu ngeri yeemu, bbo abantu abaleetebwa nga bagudde ku bubenje basusse mu ddwaliro e Mulago

Ab’eddwaliro lino bagamba nti buli lunaku bafuna abalwadde abakunukkiriza mu 200 ate nga bonna beetaga kulongoosa naye nga tebasobola kubakolako.