Ebyobulamu
Abasawo bayambeko abantu okwetta- Canada
Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga lya Canada ekkirizza abasawo okuyambako abalwadde abali mu bulumi okufa
Kino kyaali kyassibwaako envumbo mu mwaka gwa 1993.
Mu kusalawo kwa kkooti , kkooti egambye nti kuno kuba kulinyirira ddembe lya bannansi ba Canada ababeera mu bulumi ng’ate tebajja kuwona
Ensonag eno yali yatwalibwaayo bannakyeewa nga bakikiridde abakyala babiri abaalina obulwadde obutawona nga bagaala kuttibwa kyokka nga kati baafa dda.
Kati gavumenti erina omwaka gumu okukyuusa amateeka okukkiriza abasawo okutta abalwadde abalina endwadde ezitawona nga bali mu bulumi.