Ebyobulamu
Abasawo b’ebicupuli bakwatiddwa
Mu disitulikiti ye Lwengo abasawo b’ebichupuli 20 bakwatiddwa.
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa abakulira eb’obulamu mu disitulikiti eno ne poliisi nga basangiddwa nga tebalina layisinsi ssaako n’okukolera mu bifo ebijama.
Okusinziira ku akulira okulondoola eby’obulamu mu kitundu Michael Kayizi, bakoze ekikwekweto kino oluvanyuma lw’okukizuula nti abasawo 70% mu disitulikiti eno tebalina bisaanyizo nga kale kino kyabulabe eri obulamu bw’abantu.