Ebyobulamu
Abasawo beedimye e Soroti
Abayizi b’obusawo ku ddwaliro lya gavumenti e Soroti bediimye okujanjaba omuntu yenna lwaminisitule y’eby’obulamu kulwawo kubasasula.
Akulira abayizi bano Isaac Orec agamba banatera kubagoba mu mayumba nga kati bateekateeka kugabana mizigo mwebasula olwabalandiloodi okutiisa okubagoba lwakumala emyezi 3 nga tebabasasula.
Ono agamba baawndikira dda omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’eby’obulamu ku nsonga eno n’abagumya bugumya nga bwebajja okusasulwa.
Bano baweze obutakwata ku mulwadde yenna okutuusa nga basasuddwa .
Ebyo bibadde bikyali bityo n’abalongoosa eddwaliro nebabegattako nga bagamba basasulwa obusente butono .
Bano basasulwa emitwalo 5 zebagamba nti tezimala sso nga n’embeera gyebakoleramu teyeyagaza.