Ebyobulamu
Abasawo b’obwongo batono
Omuwendo gw’abasawo abakola ku ndwadde ezokwata ku bwongo ogukendeera buli lunaku gwerarikiriza
Abasawo bano benyini nabo bawulira obuzita olw’okuba nga batono nga bamaliriza bakooye nnyo n’obutakola bulungi ku bantu n’okubawa obudde
Abasawo bano kati basabye nti ku buli ddwaliro lya gavumenti eddene wabeewo abasawo b’ekika kino babiri okuyamba ku muwendo gw’abalwadde ababeetaga
Akulira abasawo bano mu ddwaliro ekkulu e Mulago, Dr Mike Muhumuza agamba nti balina abakugu bokka abakola ku bwongo 6 nga bano baweereza abantu obukadde 33
Muhummuza agamba nti ssinga kino kikyuukamu, obulamu bw’abalwadde bangi bujja kutaasibwa
Ono agamba nti mu ddwaliro e Mulago wokka bafuna abalwadde nga 10 abeetaga okulongoosa obwongo naye nga ababakolako batono
Dr Muhummuza bino abyogedde akyazizza abagenyi okuva mu dddwaliro lya Yoshoda e Buyindi nga bano bazze kulongoosa bantu bwongo ku bwereere
Bano bagenda kujjanjaba abantu mu nkambi ekubiddwa e Mulago ng’eno yakugendera ddala mu maaso okutuuka ku lw’okutaano