Ebyobulamu
Abasawo mubasseemu amaanyi
Minisitule y’ebyobulamu eweereddwa amagezi okuteeka amaanyi ku basawo abagaana okukolera gyebabasindika yadde mu byalo.
Kino kigendereddwamu kukendeeza ku bbula ly’abasawo.
Amagezi gano gaweereddwa ssentebe w’akakiiko akakola ku by’obulamu n’ategeeza nga abasawo bwebajja okusoboloa okugabanyizibwa kyenkanyi nemubitundu ebizibu okutuukamu.
Mu mwaka gwa 2014-2015 akakiiko kawandiisa abasawo 800 ku mutendera gwa disitulikiti wabula n’okutuusa kati abasawo bakyali batono.