Ebyobulamu
Abasoba mu 130 balongoseddwa Hernia
Abalwadde ba Hernia abasoba mu 130 beebalongoseddwa mu ddwaliro lye Gombe mu nkambi emaze ssabiiti nnamba
Enkambi eno etegekeddwa aba Habib Medical School of the Islamic University in Uganda n’eddwaliro lye Gombe
Omusawo mu ddwaliro e Gombe Dr Ssekitoole Badru agamba nti bataddewo enkambi eno okuyambako abantu abangi abafuna obulwadde buno ate nga bangi beeyuna basawo ba kinnansi
Dr Ssekitoole agamba nti buli lunaku bafuna abalwadde ba Hernia abali wakati w’ababiri n’abana ate nga baba bakereeye era oluusi bafa
Hernia abeera kizimba ku lubuto era nga kiba kiruma ng’omwana kw’omulabira kwekufuna obuzibu mu kukolola, okukola dduyiro n’okugenda mu kabuyonjo.
Okumwewala omuntu asaanye okwewala okusitula ebizito, okutuula obubi,omugejjo, okulya obubi n’okufuuwa sigala.