Ebyobulamu
Abasoba mu 3000 bajjanjabiddwa
Abantu abasoba mu 3000 beebafunye obujjanjabi ku bwereere mu nkambi ekubiddwa e Buyoga mu Bukomansimbi
Abasawo abatali bamu okuva e Masaka ne mu bibiina ebitali bimu nga Uganda cares, TASO, Kitovu mobile beebakungaanidde ku kkanisa ye Buyoga okujjanjaba abantu nga bakuza olunaku lw’ebyobulamu e Masaka
Mu ndwadde ezijjanjabiddwa kwekuli senyiga, amannyo, emitwe, okukebeza obulwadde bwamukenenya n’okubudabuuda ababulina
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago alabudde abantu ku kukulembeza eddogo nga n’abamu bagaanira ddala okugenda mu malwaliro
Ono agamba nti abantu basanye okweyunira amalwaliro buli lwebalwaala okusobola okwekuuma nga balamu.
Yye ssentebe wa disitulikiti ye Bukomansimbi Muhammad Katerega agambye nti buli mwaka bafuna obukadde munaana okubayambako mu byobulamu nga zino ziva mu bulabirizi bwe Masaka.