Ebyobulamu
Abasoma obusawo bakyediimye
Abasoma obusawo e Mulago olwaleero bagenze mu maaso n’okwediima kwaabwe era nga bagamba nti teri kudda ku mirimu okutuuka nga basasuddwa.
Abasawo bano batadde wansi ebikola olunaku lwajjo nga nabe ava ku butasasulwa okumala emyezi 3
Abasawo bano abayiga abasoba mu 150 bagamba nti basanze obuzibu okweyimirizaawe kubanga tebalina kkubo ddala mwebajja nsimbi.
Yyo minisitule y’ebyobulamu egamba nti ekola kyonna ekisoboka okulaba nti ensonga eno egonjoolwa.