Ebyobulamu
Abateberezebwa okutta Kaweesi bakomawo mu kooti.
Bya Ruth Anderah.
Bwetugendako mu kooti, abasajja 6 abateberezebwa okwetaba mukutta eyali ayogerera police ye gwanga Andrew Felix Kaweesi lw’ebagenda okuzibwa mu kooti basomerwe emisango egy’obujju.
Bano leero bali mu maaso g’omulamuzi w’e daala erisooka e Nakawa Noah Sajjabi okumanya police weetuse mu kunonyereza ku musango gwabwe.
Kati olunaku olwaleero, omuwawabi wa government asuubirwa okuleeta obujulizi obulaga nti nga March 17th 2017 wali e Kulambiro , bano beekobaana nebatta Andrew Felix Kaweesi, omukuumiwe Kenneth Erau neyali amuvuga Godfrey Wambewa.