Ebyobulamu

Abatomera Emitwe Beegendereze

Ali Mivule

June 14th, 2013

No comments

 

 

Abazanyi bomupiira munsi yoona abatomera enyo emitwe nga bazanya omupiira bali mu kabi kokukosebwa ku bwongo naddala nga banyuse okuzanya omupiira guno.

Abakugu mu byobulamu bagamba omuntu bwatomera omutwe obwongo busesetuka era bwakikolera ebbanga edene buva mukifo ekituufu webulina okutuula olwo omuntu nafuna obuzibu.

Kino kisinga kukosa bazanyi abatomerera omupiira ku ludda lwakawompo, nga  bbo abatomerera ku kyenyi tebatera kufuna buzibu buno.

Ku bantu 37 abakoleddwako okunoonyereza 29 kubbo baali bazanyi bamupiira era abasinga baali baatandika okuzanya omupiira kumyaaka 22.