Ebyobulamu
Abatunda eddagala, ebyokulya n’ebizgo ebijingirire bubakeredde
Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kye ddagala kirayaidde nti, ababadde bayingiza eddagala erijingirire nebikozesebwa mu malwaliro ebitali ku mutindo, bubakeredde.
Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokutema evvuniike eryuomulimu guno ogugenda okumalwo obuwumbi 31, ssentebbe wekitongole kya National Drug Authority Dr Medard Bitekyerezo, agambye nti mu laboratory eno baakwekebejja emmere nebyokulya ebikolebwa wano, ebizgo, eddagala nebiralal.
Omulimu guno gugenda kujibwako engalao mu bbanga lya myaka 2.