Ebyobulamu

Abavubuka abalwadde tebagala ddagala
Bya Tom Angurin
Okunonyereza okwakoleddwa aba Baylor Uganda kulaze nti bangi ku bavubuka mu gwanga, abalwadde ba mukenenya tebagala kukozesa ddagala eriweweeza ku kawuka ka mukenenya  olwokubaboola okubatusibwako.
Ebyavudde mu kunonyererza biraze nti abasing babolebwa mu masomero, ekibawaliriza nokuva ku ddagala.
Sabrina Kataka nga musawo mukugu nekitongole kya Baylor Uganda agamba nti nabalwadde, batera okubeera nokuvuganya ne banaabwe bwebenkanya emyaka nga bagala okweyisa nga banaabwe abalamu.
Kati akubidde abavubuka omulanga, okukozesa eddagala lwebanansigala nga balamu.