Ebyobulamu

Abavubuka baddukidde mu palamenti

Abavubuka baddukidde mu palamenti

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Waliwo ekibinja kyabavubuka nga bakulembeddwamu knsala okuva e Kabale Catherine Kyomugisha abaddukidde mu kakiiko ka palamenti akebyobulamu, nga babanja bujanjabi, bwabwe ngabavubuka.

Bano bagala basomesebwenga ebyekikula, kubanga obutabimanya, bagamba nti kivuddeko abaana okubukanga nembuto nga tebanetuuka.

Ekiwandiiko mwebatadde okwemulugunya kwabwe, bakuwadde ssentebbe wakakiiko kebyobulamu Michael Bukenya.

Bano bagamba nti kibakumidde mu butamanya ku bulamu bwabwe.

Ate mungeri yeemu abakugu mu byobujnjabi basabye gavumenti, okwongera ku nkola ezentegeka ye zadde, okwongera okukendeeza ku mbuto, abantu zebatetegekedde.

Akulira ebyobulamu ku kakaiiko aka National Population Council Dr. Betty Kyadondo, agambye nti waliwo obwetaavu okuteeka ssente mu family planning, okujjawo okuzaala okungi ekyongedde neku bungi bwabantu.