Ebyobulamu

Abavubuka balina okwebaka ekimala-Alipoota

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

teenager fails to sleep

Abavubuka abateebaka tulo tumala emirundi egisinga batera okukozesa ebiragalaragala n’okwegadanga mu ngeri etali ya buvunanyizibwa.

Bino bizuuliddwa bannasayansi okuva mu America.

Bano bagamba nti abavubuka balina okufuna otulo otumala era abatakikola batera okukola ebintu ebitategerekeka.

Wano webasabidde abazadde okulondoola enneyisa y’abaana baabwe okulaba nti beebaka bulungi.