Ebyobulamu
Abavubuka mubasomese ku mukenenya
Abazadde basabiddwa okusomesa abaana baabwe ku bulabe bw’obulwadde bwa mukenenya ng’ennaku z’okusoma zisembera
Akulira akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya Dr. Christine Ondoa agamba nti abavubuka bangi bafuna obulwadde buno kubanga baba bamanyi kitono.
Ondoa agamba nti abaana balina okufuna obubaka bumu nti kiba kirungi nebeewala ensonga z’okwegadanga nga tebannafumbirwa.
Alipoota eyakolebwa minisitule y’ebyobulamu eraga nti abaana okumala geegadanga kyekimu ku bikyalemezzaawo obulwadde bwa mukenenya
Alipoota yeemu eraga nti abavubuka abali wakati w’emyaka 15 ne 24 abalina ekirwadde kya mukenenya baweza ebitundu 3 n’obutundutundu musanvu ku kikumi.