Ebyobulamu

Abavubuka ssiba kwekalakaasa

Ali Mivule

December 14th, 2015

No comments

Abatuuze mu disitulikiti ya Abim basazizzamu akediimo kaabwe kebabadde bategese okulaga obutali bumativu bwabwe ku ky’okuwumuza abasawo 3 abalambuza Dr. Kiiza Besigye eddwaliro lya disitulikiti nga liri mu mbeera mbi.

Abatuuze bano basazizzamu akediimo kano oluvanyuma lw’omuwandiisi wenkalakalira Dr. Asuman Lukwago okuvumirira ekiteeso ky’okuwummuza abasawo bano.

Dr. Lukwago y’alagidde abasawo bano baleme kukwatibwako kubanga gwemulundi gwabwe ogwasoose okukola ensombi nga eno.

Akulira abakozi mu disitulikiti eno  Kaziba Nandala y’awandikira abasawo bano nga abasawo bewozeeko oba ssikyo bavunanibwe olw’okwasa ebyama by’emirimu.