Ebyobulamu
Abavubuka tebakyafaayo ku mukenenya
Minisitule ekola ku by’obulamu akakasizza nti abavubuka okumala geegadanga kyekivuddeko mukenenya okweyongera.
Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abavubuka bangi balowooza nti waliwo eddagala eriweweza ku mukenenya olwo nebalowooza nti baba bawona.
Opendi wabula agamba nti bakusigala nga bakola obubaka obugenda eri abavubuka okulaba nti kino kikendeera
Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu, abantu 7 ku kikumi beebalina obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga