Ebyobulamu
Abavubuka tebamanyi kukozesa bupiira
Abasawo okuvaako ku ddwaliro lya Komamboga health centre 3, beeralikirivu olw’abavubuka abasinga obungi obutamanya kukozesa bupiira bu kalimpitawa ekibaviiriddeko okukwatibwa endwadde z’obukaba ate nga bbo abawala baggyeemu mbuto.
Akulira eddwaliro ly’abavubuka Anderson Kiwanuka atutegeezezza ng’abavubuka abasinga obungi bwebafunye endwadde omuli enziku ate nmga bujjudde mu malwaliro.
Eddwaliro lino lijjanjaba abantu okuva mu bitundu bye ebitali bimu omuli Mpererwe,Kyanja,Kisaasi,Komamboga,Kanyanya n’ebirala bingi nga mu kiseera kino lirina omujjuzo nga guva ku nsonga nti erye Kawempe eriri mu kuddabirizibwa