Ebyobulamu
Abawala bangi bakankana lwebasooka okuzza omukono emabega
Kizuuliddwa nti abawala bangi naddala mu byaalo bafuna obuzibu olunaku lwebazza omukono emabega nga baba tebamanyi kyakukola
Kino kiva ku nsonga nti ku masomero gyebamala obudde obusinga obungi tebafuna kufiibwaako kumala
Eno y’ensonga lwaki ekibiina kya AMREF kitandise okussaawa ebifo ebyenjawulo abaana abawala mwebanatendekebwa ku bintu ebitali bimu omuli n’eky’okukola nga balwadde
Bano basookedde Kawempe
Akulira ekibiina kino e Kawempe Mutwalibu Walide agamba nti bagenda kusomesa abawala ku ngeri y’okwekuumamu nga bayonjo n’obutayosa ku masomero.