Ebyobulamu

Abayiga obusawo abamu basasuddwa- bagaanye okusazaamu akeediimo

Ali Mivule

May 14th, 2015

No comments

health workers strike

Nga wayise ennaku ttaano ng’abayiga obusawo bassizza wansi ebikola, minisitule y’ebyobulamu egonze n’ebasasulako omwezi gumu

Abakulira abasawo bano mu bitundu bye Soroti, Jinja, Mbale ne Naguru bagamba nti basasuddwaako omwezi gwa January kyokka nga tebagenda kudda ku mirimu okutuuka nga bongeddwa ensimbi.

Omu ku basawo bano aataagadde kwatuukiriza mannya ge agambye nti bakkiriziganyizza nti balinde bongerweeyo wakiri emyezi ebiri olwo badde ku mirimu

Wabula bano bagamba nti tebannaba kufuna mawulire gonna kuva mu minisitule y’ebyobulamu ng’ensimbi bazisanze busanzi ku akawunta zaabwe

Yye nno omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Asuman Lukwago agamba nti abantu bano badde ku mirimu kubanga ssinga bagaana bajja kugobwa

Lukwago agambye nti batuula n’abasawo bano nebabategeez ebizibu byaabwe kyokka nga tebakolebwaako