Ebyobulamu
Abayiga obusawo e Mulago beediimye
Ab’eddwaliro lye Mulago bawakanyizza ebigambibwa nti abayiga obusawo babanja emyezi esatu
Abayizi bano bakedde kwediima nga bagamba nti ensimbi zaabwe zasaliddwaako emitwalo 25.
Bano bategeezezza nti ensimbi zaabwe zebalina okufuna giri emitwalo 85 kyokka nga babadde bafuna emitwalo 60 okumala emyezi esatu.
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti bano tebabanja kubanga babasasula mu bitundu kale nga kiyinza okuba nga kyekyaleeta obuzibu
Kusaasira agambye nti ku ky’okuwa abayizi ow’okusula, kikyaali kizibu okutuuka ng’okuddabiriza Mulago kuwedde