Ebyobulamu
Abazaalisa bakwongerwaako
Enteekateeka zikoleddwa okwongera ku basawo abazaalisa mu ggwanga.
Okunonyereza kulaga nti Uganda erina abazaalisa 44000 bokka.
Akulira okuwandiisa abasawo abazaalisa John Wakida, akkiriza nti ddala kituufu abazaalisa tebamala kale nga basaana okwongerwako.
Wabula ate ono ategeezeza nga gavumenti bw’etandise kawefube ow’okuwandiika abasawo abalala.